Amawulire
Emiwendo gya Covid gisuubirwa okulinnya mu ssabiiti 2 egijja mu maaso
Bya Prossy Kisakye,
Bannauganda abakwatibwa ekirwadde kya covid-19 bakweyongera mu ssabiiti 2 egijja mu maaso
Bino bifulumidde mu alipoota eya buli ssabiiti ekolebwa ekitongole ekivunanyizibwa ku kutekeratekera eggwanga ki National Planning Authority.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa senkulu wekitongole kino Dr Joseph Muvawala, ssabiiti etandika nga 22nd to 28th August, abantu 169 bebagenda okufuna akawuka buli lunaku ate mu wiiki enamba Uganda esuubirwa okufuna abalwadde abapya abasoba mu 1000
Ate mu ssabiiti etandika nga 29th August to 4th September, Uganda yakufuna abalwadde ba covid abapya nga 190 mu lunaku lumu ate mu wiiki enamba  abalwadde nga 1,300 bebayinza okweyongerako oluvanyuma lwa gavt okugyawo omuggalo.
Wabula Muvawala agamba nti oluvanyuma lwennaku 28 etambula yekirwadde ejjakusinzira kungeri abantu gyebanekuumamamu obutakwatibwa kirwadde.