Amawulire
Gavt yakateeka obuwumbi bwénsimbi 96 mu nsawo yábakyala
Bya Prossy Kisakye,
Minisitule evunanyizibwa kukikula kyábantu, abakozi ne nkulakulana yábantu egamba nti wetutukidde olwaleero nga yakateeka obuwumbi bwensimbi za Uganda 96 mu pulogulamu ya gavt eyókukulakulanya abakyala eya Uganda Women Entrepreneurship Program (UWEP) mu myaka etaano egiyise.
Okusinzira ku minisita omubeezi avunanyizibwa ku baliko obulemu Hellen Asamoh, abakyala abalala 15,200 nabo baganyuddwa mu ntekateeka eno okwetoloola eggwanga lyonna kati omuwendo gwa bakafuna mu pulogulamu eno guli ku bakyala 180,000.
Ono okwogera bino yabadde akwasa abakulembeze ba disitulikiti okuli Kassanda, Pakwach, Kazo, Rwampara, Kitagwenda,Madi Okollo, Karenga ne Kalaki pikipiki ebyuma biukali magezi, ne zipulinta ku kitebe kya minisitule mu kampala.