Ebyobulamu
Baggadde obulwaliro
Ab’ekibiina ekikola ku ddagala ekya The National Drug Authority kitandise okukola ebikwekweto okuggala amalwaliro agatatuukagana na mutindo
Obulwaliro obusoba mu kikumi bwebwagaddwa mu bugwanjuba ne mu buva njuba bw’eggwanga
Akulira ekibiina kino, Gordon Ssematiko agamba nti bafubye okulabula bannanyini bulwaliro buno naye nga bafuuyira ndiga mulere
On agamba nti obulwaliro bungi bukyaafu nga bwongera ku bulwadde