Amawulire

Omulamuzi aboye essimu zababaka ba NUP

Omulamuzi aboye essimu zababaka ba NUP

Ivan Ssenabulya

September 5th, 2021

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Wabadewo akajagalalo mu kooti enkulu e Mubende ababaka mu palament 3 webajidwako amasimu gwabwe omulamuzi Emmanuel Baguma oluvanyuma lw’okubakwata lubonna nga bakwata e bifaananyi mu Court ekintu kyeyagaana edda era bwatyo nabalagira okuwaayo amassimu gabwe.

Omulamuzi abategeeza nga bwabasasidde obutabatwala mu kkomera wabula nga oluvanyuma zabazidizibwa nga ebifananyi bisangudwamu.

Ababaka banno kubaddeko owa Mityana District omukyala Joyce Bagala,owa Mityana Municipality Francise Zaake nowa Busujju David Lukyamuzi Kalwanga nga banno ebifaananyi babadde bakubye bya Hassan Mutebi abadde azze okulumiriza Joyce nti yapangisa bakanyama beyakulemberamu nebajja okulonda e Mityana nokukyankalanya okulonda.

Lubadde lunnaku lwakubiri ngomulamuzi awuliriza omusango ogwalopebwa Minister webyettaka Judith Nabakooba Nalule ngawakanya obuwanguzi bwa Joyce Bagala Ntwatwa era leero abantu 6 bebawuliriziddwa ngesigadde mwenda abasuubirwa okumalirizibwa ku Sunday eno nga 5/9/2021.

Oluvudde mu Court Minister atubuulidde nti bantu be bajeeyo Bulungi obujulizi obuluma Joyce nti yabba akalulu era wakumujjako obuwanguzi bwe obwamuwebwa abantu nebabumubbako.

Kakati bbo bannamateeka ba Nabakooba okuli Ivan Omoroni ne Okello Oryem bavumiridde efujjo erikoleddwa ababaka nga bagezaako okutiisatiisa abajulizi baabwe.

Kyokka Joyce Bagala agambye nti ye banno bazzenga bantu be era tewali fujjo lyebakoze kuba abantu abalala babadde mu Court naye bayikirizaamu babe ekiraga obutitizi bwoludda oluwaabi.

Ye Francise Zaake agambye nti obujulizi obuzze mu Court talabyemu nti era bureteddwa bafere bebagadde okukuba e bifaananyi omulamuzi nabalemesa kale Minister yesibe bbiri kuba bwebamuwangula wakuliwa ensimbi buwanana.