Amawulire
UNRA yekokodde ababba ebipande ku nguudo
Bya Ndhaye Moses
Ekitongole kyebyenguudo mu gwanga, Uganda National Roads Authority balaze okutya kungeri ebyuma byokunguudo gyebibibwamu.
Okusinziira ku akulira ebyenguudo mu UNRA, John Ssejemba abantu babba obupande nebyuma okubitwala okubitunda, nga kirina engeri gyekyongedde ku bubenje ku nguudo.
Kati agambye nti baatandise ku ntekateeka okukozesa ebintu nobupande, ebitayinza kusikiriza bantu okubibba.