Amawulire
Omukama Oyo akunze abantu be okubeera obumu
Bya Ritah Kemigisa
Omukama wa Tooro, Oyo Nyimba Kabamba Nguru IV asabye abantu be okubeera obumu, mu Bwakabaka ne Uganda yonna.
Obubaka buno abuwadde abantu be ku mikolo egikwatiddwa olwaleero egyamattikira agomulundi ogwa 26, emikolo egyimanyiddwa ng’Empango.
Omukama Oyo agambye nti okukolera awamu, lyekkubo erinabatuusa ku nkulakulana eyanamaddala, wewaawo waliwo okusomozebwa kwa okuleteddwa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Ategezezza nti gyebalaga balabayo, kbanga mu myaka 25 egiyise waliwo ebitukiddwako era ebirabwako.
Wano waasinzidde okwebaza gavumenti, olwokusumusa Fort Portal, okukifuula ekibuga ekyebyobulambuzi nokuzza byonna byebabadde babanja okuva mu gavumenti eya wakati.
Wabula agambye nti wakyaliwo obwetaavu okuwa abavubuka obukugu mu byemikono, okulwanyisa ebbula lyemirimu nga kino agambye nti kyekijja okubafuula abatondawo emirimu mu kifo kyokujinoonya.
Ku lunnaku Lwomukaaga Obukama, baatongozza entekateeka eyemyaka 25, oba ekirooto kyebatuumye Kingdom’s Vision 2045 ku mubala socio-economic development, transformation and prosperity of the People and Kingdom of Tooro entekateeka egenda okuyitwamu okuleeta enkulakulana eri abantu ba Tooro.
Essira balitadde ku buwangwa, enono, ebyobulambuzi, obutumbula ebyobulimi, okuwa abantu obukugu obwomutwe, okutumbula ebyobulamu n’okulwanyisa mukenenya nebirala.