Amawulire
Ssegirinya ne Ssewanyana bagudwako gwa Butujju
Bya Malik Fahad,
Ababaka ba palamenti okuva mu kibiina kya NUP ababiri abavunanibwa okutegeka obutemu bwe bijjambiya mu bitundu byóbwagagavu bwe e Masakaomwafiira abantu abakunukiriza mwa 30 bagudwako emisango emirala egyobutujju.
Ababaka bano okuli owa Kawempe North Muhammad Ssegirinya ne munne owa Makindye West Allan Ssewanyana kati bawerenemba ne misango 6.
Emisango emiggya gibasomeddwa omulamuzi weddaala erisooka e Masaka Grace Wakoli akawungeezi ka leero.
mu musango oguwuliddwa okuyita kun kola eya video conferencing, oludda oluwaabi nga lukulembedwamu Richard Birivumbuka , lutegezeza kkooti nti gavt yayagadde okukola ennongosereza mu mpaaba yaayo kigiyambe okukola okunonyereza okumala.
Oludda oluwaabi lugamba nti ababiri bano wamu ne bannabwe abalala wakati womwezi gwa gatonya n’ogw’omunaana omwaka guno benyigira mu kutta abantu mu bitundu bwobwagagavu bwe Masaka ne mu bitundu bye ggwanga ebirala.
Mungeri yemu bano bategezeza kkooti nti okunonyereza kukyagenda mu maaso nebasaba okuwulira omusango kwongezebweyo.
Munnamateeka wa bavunanwa Shamimu Malende asabye oludda oluwaabi lwanguyirizeeko okunonyereza kwabwe baleme kukumira bantu be mu kaguli okumala ebbanga empanvu.