Amawulire

Amaanyi gakyetagisa mu kulwanyisa Kokolo

Amaanyi gakyetagisa mu kulwanyisa Kokolo

Ivan Ssenabulya

September 16th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe ne Moses Ndaye,

Akulira Uganda Cancer Institute Dr Jackson Orem, alaze obwetavu obwokwongera amaanyi mu kulwanyisa ekirwadde kya kokolo.

Mu kwogerako ne bannamawulire wakati mu kwetegekera olukungana olukwata ku kirwadde kya kokolo nóbujanjabi olwomulundi ogow’okusatu, Orem alaze obwenyamivu olw’omuwendo gwa bantu abafuna kokolo okweyongera mu myaka 10 egiyise.

Ono agambye nti abantu 150 ku kitwalo 10 bebafuna obulwadde omwaka oguwedde.

Omuwendo guno okweyongera kivudde ku bantu engeri gyebayisaamu.

Mungeri yemu abakugu mu byobulamu beralikiridde olwomuwendo gwa baana abato abakeberebwa ekirwadde kya kokolo okuba omutono songa abakirina bangi mu bitundu gye bawangalira.

Dr. Fadhil Geriga omukugu mu kujanjaba kokolo mu bato, agamba nti abaana 2000 bebalina ekirwadde kino wabula ku bano 30% bebagenda okufuna obujanjabi.