Amawulire
Abakozi ssi basanyufu olw’okufutyanka ebbago lya NSSF
Bya Ritah Kemigisa
Abakozi bambalidde omukubiriza wa palamenti Jacob Oulanyah olwengeri gyebagamba nti ssi yabuvunanyizibwa gyakuttemu emirimu gya palamenti.
Oulanya yalagidde nti amateeka gonna mu bubage agayisibwa palamenti eyomulundi ogwe 10 negatatekebwako mukono omukulembeze wegwanga gatekebwe mu kasero, gaakudda buto mu palamenti.
Kuliko kuliko NSSF bill 2019 eraykolebwamu enongosereza, ngomukozi owemyaka 45 aterekedde emyaka 10 asobola okuweebwa 20% ku ssente ze ezobukadde.
Kati ssentebbe wekibiina ekigatta abakozi mu gwanga ekya National Organisation of Trade Union (NOTU) nga ye Usher Owere agambye nti kino kyabakubye enkyukwe.
Owere, agambye nti kimazeemu abakozi amaanyi, wabula agambye nti bagenda kulwana okumaytiza sipiika nababaka ku bukulu bweteeka.