Amawulire

Amattikira g’eKyambogo gatandika olunnaku lwenkya

Amattikira g’eKyambogo gatandika olunnaku lwenkya

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Ettendekero lye Kyambogo lyetegese okuttikira abayizi abali mu 9,000 mu mmatikira agagenda okukulungula ennaku 3, okutrandika nolunnaku lwenkya nga 21 Sebutemba 2021.

Bwabadde ayogera ne bannamawulire amyuka ssnekulu we Kyambogo, Prof Eli Katunguka agambye nti abayizi 9,521 bebakubye oluku mutwe emisomo gyabwe nga 5,074 balenzi ate 4,447 bebobuwala.

Abayizi 251 baakonodde first class degrees, ngomuwendo guli ddala guli waggulu.

Prof Katunguka ategezezza ngomukulembeze wegwanga Yoweri Museveni ne minisita webyenjigiriza Janet Museveni bwebajja okwetaba ku mattikira okuyita ku mutimbagano.

Kinajjukirwa nti wiiki ewedde abayizi 40 baddukira mu kooti nga bawkanya ekyobutataikirwa, wabula omusango gwabwe kooti negugoba.

Mungeri yeemu, poliisi etegezezza ngamakubo gonna agayita mu univasite bwebagegnda okusigala nga maggale, eri abantu babulijjo.

Atwala poliisi yebidduka mu Kampala East, Rogers Namanya agambye nti abagenyi bokka abyitiddwa bebajja okuyingira munda.

Agambye nti ababadde bakozesa oluguudo lwa Kabaka okwebalama jam ku Jinja Road nabo baganiddwa.