Amawulire
Okugema ne Pfizer kutandika wiiki ejja
Bya Musasi Waffe
BannYuganda bagenda kugemebwa neddagala lya Pfizer, erigema ssenyiga omukambwe okutandika ne Bbalaza.
Olunnaku lweggulo Uganda yafunye eddagala erigema ssneyiga omukambwe doozi akakadde 1 nemitwalo 60 nokusoba, enkata eyabakubiddwako gavumenti ya America.
Okusinziira ku akulira entekateeka z’okugema mu minisitule yebyobulamu Dr Alfred Driwale, bagenda kutandika wiiki ejja.
Bebagenda okusosowaza kuliko abasomesa, abasawo, nabakuze mu myaka abaweza 50 nabakuuma ddembe.
Waddeng okunonyereza okwakolebwa ettendekero lya University of Oxford mu June womwaka guno, kwalaga nti okugattika eddagala eryebika ebyenjawulo kwongera okuzimba obusobozi bwomubiri okulwanyisa obulwadde, Dr Driwale agambye nti tebagenda kugattika ddagala.