Amawulire

Amasinzizo gaguddwawo, amabaala gasigadde maggale ne kafyu nasigalawo

Amasinzizo gaguddwawo, amabaala gasigadde maggale ne kafyu nasigalawo

Ivan Ssenabulya

September 23rd, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni, akalambidde nti amabaala nebifo ebisanyukirwamu byakusigala nga biggale.

Ebifo bino bibadde ku muggalo ogusalako, kati emyaka kyenkana 2 okuva mu March womwaka aoguwedde 2020.

Mu kwogera kwe eri egwanga ku mbeera yekirwadde kya ssenyiga omukambwe, Museveni agambye nti amabaala, ebikeesa nebivvulu ebirala bikungaanya abantu bangi atenga kibeera kizbu okugoberera amateeka gabebyobulamu ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Azeemu okutegeeza nti baakuggulawo ebifo bino, ssinga wakiri bagema abantu obukade 4 nemitwalo 80.

Ate ebikaali bya filimu ne Cinema nabyo agambye nti bikyagaddwa, kubanga muno temuberamu ntambula yampewo entuufu.

Kati mu byaguddewo ebigenda okukola kuliko ebibanda bya zaala ne Casino, gaming, betting ne gym wabulanga agambye nti byakukola naye batekeddwa okuggalwo ssaawa 12 akawungeezi.

Obutale bwomubuulo nabwo abuguddewo, kubanga agambye nti bakolera mu byererezi

Wabula mu bifo ebimu, obutale buno tebugenda kukola.

Obutale bwomubuulo tebujja kukola e Kampala, Soroti, Kabale, Gulu, Yumbe, Nwoya ne Kumi ngebifo bino agambye nti birimu obulwadde bungi.

Mungeri yeemu omukulembeze wegwanga aguddewo amasinzizo, nga bano babadde ku muggalo emyezi 3 okuva nga 18 June omwaka guno.

Pulezidenti Museveni agambye nti emiwendo gyabalwadde aba buli lunnaku gikendedde, ngokubala okwangu abalwadde 124 bebafunika buli lunnaku okuva ku balwadde 1000 abafunikanga olunnaku ku ntandikwa yomuggalo ogwokubiri.

Kati agambye nti amasinzizo gakuggulawo, nayenga tebasukka abantu 200.

Abasaba era balabuddwa bagoberera amateeka gokwetangira obulwadde, bewale nokusabanga mu budde bwa kafyu.

Kafyu yasigadde ku ssaawa 1 akawungeezi okutuuka ku 11 nekitundu ngobudde bukya, songa boda boda zitekeddwa okukoma okukola ssaawa 12 akawungeezi.

Bbo abantu abetaba ku mikolo, okugeza embaka okuziika nemiralal yabongeddeko okutuuka ku 200.

Ebyokusoma;

Omukulembeze wegwanga aguddewo masomero ga secondary ne primary, wabulanga gaakutandika okusomesa mu January womwaka ogujja.

Ggo amatendekero gebyemikono nezi univasite zigenda kuggulawo nga 1 mu Novemba womwaka guno.

Agambye nti okuggulawo amasomero era kyesigamiziddwa kungeri okugema bwekunaaba kutambudde, wakiri nga bawezezza abantu obukadde 4 nemitwalo 80.