Amawulire
Amakanisa gaaguddewo, abantu nebabakutira bongere okwekuuma COVID-19
Bya Ivan Ssenabulya ne Gertrude Mutyaba
Omusumba wessaza lye Masaka Serverus Jjumba akunze abakulisitu okwongera okwambala mask zaabwe.
Buno bwebwabadde obubaka bwe ku Ssaza Parish e Masaka, bweyabadde akulembeddemu okusaba olunnaku lweggulo.
Kati mu kusaba okwasoose, nga bakaggulawo amasinzizo, baajaguzza omujulizi Bruno Sserunkuuma nga kino kikolebwa buli Sunday esembayo mu mezi gwomwenda.
Bishop Jumba alabudde ku kabi akali mu bulagajjavu, ngabantu bangi ebyokwambala masik babadde babivuddeko ekintu ekigenda okwongera okusaasasana kwa ssenyiga omukambwe.
Abajjukizza abantu abagundiivu abafudde ssenyiga omukambwe, okwali neyali omusumba wessaza lino John B Kaggwa.
Ate omusumba w’ekanisa ya Mt Lebanon Christian Center e Mukono, akutidde abantu okujjumbira okwekebeza ekirwadde kya ssenyig omukambwe nokwegemesa.
Lwandasa bino yabyogeredde mu kusaba okwaguddewo amasinzizo, okwabadde ku kkanisa eno.
Okusaba kuno okwasoose oluvanyuma lwemyezi 3 baakukozesezza okwebaza Katonda olwomukulembeze wegwanga eyattaguludde omuggalo ku masinzizo.