Amawulire
MUBs etikidde abayizi abasoba mu 1,400
Bya Juliet Nalwooga
Ssenkulu wettendekero lye Makerere Prof Ezra Suruma asabye abayivu bulijjo okulaganga entekateeka enagobererwa eri abakulembeze okutereza ebyenfuna.
Prof Suruma, nga yaliko minisita webyensimbi, abadde ku mattikira gettendekero lya Makerere University Bussiness School (MUBS), agomulundi ogwe 15.
Wabula atenderezza abakulu ku ttendeero, akaze obutaweera okutumbula ebyenjigiriza nga waliwo nabakugu abafunye zzi PHD.
Abayizi abasoba mu 1,400 bebattikiddwa, bafulumye namabaluwa ku mutendera gwa Postgraduate Diploma, Diploma nezi certificate mu masomo.
Gano gemattikira agomulundi ogwe 15 nga gagatiddwa wamu, abayizi abaalina okuttikirwa mu May 2020 nabomwaka guno 2021.
Kinajjukirwa nti olwekirwadde kya ssenyiga omukambwe, ettendekero teryasobola kuttikira bayizi mu mwaka gwa 2020.
Ku bayizi abattikiddwa kuliko nabasibe 39 abasomye ebya business nobusbuzi ku ddaala lya satifikeeti.
Amattikira gano era gakwatiddwa neku matabi ga MUBS amalala okwetoloola egwanga okuli Mbale, Mbarara, Arua ne Jinja.
MUBS ttendekero eryazalibwa ettendekero ekkulu mu gwanga erye Makerere.