Amawulire
Nnabambula wómuliro asanyizaawo emmali ya basuubuzi e Jinja
Bya Nakato Tausi,
Abasuubuzi abakakalabiza emirimu gyabwe mu kibuga kye Jinja City gebakaaba gebakomba oluvanyuma lwa nnabambula womuliro ogutte amadduka 12 mu kiro ekikeseeza olwaleero ebintu bya bukadde na bukadde ne bibengeya.
John Bogere,omu kuberabideko atubuulidde nti poliisi etuuse mu budde okugezako okutakiriza emmali ya basuubuzi wabula gusigadde guteta.
Omuliro wegukwatidde abasuubuzi bbadde banyuse emirimu gyabwe mu budde bwa kafyu
Abawulidde ku mawulire gano basobodde okukomawo okulaba nti bataasa emmali yabwe wabula nga tekikyasoboka
Samuel Mulondo, omu kubannyini madduka agakutte omuliro akulukuse amazima bwategezeza nti abadde akyalwanagana na mbeera ye kirwadde kya covid-19 ekyabakosa kati tamanyi kyazaako.
Akulira poliisi ezikkiriza omuliro mu bitundu kye Kiira Rashidi Kamayo, agambye nti omuliro gwatandise kusaawa nga 9:20pm era ebizimbe 12 byebikosedwa
Okunonyereza ku kiviriddeko omuliro guno kutandise.