Amawulire

Ababanja amabugo bagaanye okubajjako omusaayi

Ababanja amabugo bagaanye okubajjako omusaayi

Ivan Ssenabulya

October 3rd, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Ababanja omulambo gw’omuntu wabwe eyattibwa mu bijambiya gyebuvuddeko mu mwezi ogwomunaana bagaanye okuwaayo omusaayi eri Commissioner wa poliisi Julius Twinomujuni eyavudde ku kitebe e Kampala.

Ono yagenze e Lwengo okuggyako abagamba okuba ab’oluganda lwabo abaafiirwa omuntu wabwe, omusaayi okukebera wakati mu kunonyerea okugenda mu maaso.

Omugenzi ye Francis Ruhamyankaaka nga yali wamyaka 49 ng’ono yattibwa nga 1 ogwomunaana omwaka guno ku kyalo Ddongwa mu gombolola ya Kisekka mu district ye Lwengo.

Kati sabiiti eno, poliisi eriko abantu basatu abagambibwa nti beefuula ab’oluganda lw’omugenzi nebagenda mu state house okuggyayo ensimbi obukadde 10 ezaali ez’amabugo.

Abaakwatibwa kwaliko Edward Ssentongo ng’ono yakyogera lwatu nti yeyaggyayo ensimbi kyokka aliko abalala beyawa ku nsimbi okuli eyali akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango e Lwengo Patrick Mbabazi.

Kati ab’oluganda lwomugenzi okuli Kwizera Nfitumukiza, Rosemary Nyirabaseveni ne George Mbonipa bagaanye okukirza okubajjako omusaayi, bagamba nti bagala mabugo.

Ssentebe we kyalo Kanakulya mu Kyazanga town council e Lwengo David Ssebuguzi ngabasatu bano gyebaatuukira okwekubira enduulu, agambye nti naye akooye okuyamba abantu bano.

Ssebuguzi ayagala Afande Edith Nakalema ayingire mu nsonga eno, waberewo pobwenkanye.