Amawulire
Poliisi ekutte taata eyasobya ku muwala we namutikka nolubuto
Bya Juliet Nalwooga
Poliisi mu disitulikiti ye Wakiso bakwataganye nabakulembeze be Bujuuko, ku kyalo Ntinda mu gombolola ye Mende nebanunula omuwala owemyaka 15 ne mwanyina, taata waabwe babadde yagglira mu nnyumba ngabasibe.
Bano kigambibwa nti kitaabwe Abdul Shakur Twebaze, owemaka 67 yabadde yabagalira nga tabakiriza wadde okufuluma.
Abaulembeze ku kyalo bagamba nti baafunye amawulire ku musajja ono nengeri gyabadde asibiramu abaana mu nnyumba.
Kati poliisi egamba nti nti embeera gyesanzeemu abaana bano mbi nnyo, ngomuwala agambye nti kitaawe yamusobyko enfuna eziwera namutikka n’olubuto.
Kigambibwa nti taata era mu mwaka gwa 2020, ymufumbizaako ewa mukwano gwe ategerekeseeko erya Sheikh Muhammad ngono yamuyisa mu mbeera etayogerekeka.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti bakutte taata ono, ku misango gyokusobya ku muwala we,okutulugunya abaana nokuyambako okujjamu olubuto.
Poliisi egamba nti ebakanye nomuyiggo ku mukwano gwomukwate Sheik Muhammad.