Amawulire
Olunnaku lw’omwana omuwala-Muvunaane abaabafunyisa embuto
Bya Juliet Nalwooga ne Prosy Kisakye
Uganda olwaleero yegasse kunsi yonna okukuza olunnaku lwomwana omuwala, International Day of the Girl Child.
Kati minisitule yekikula kyabantu eraze okutya ku bumenyi bwmaateeka obwoku mitimbagano, oluusi obukolebwa ku baana ku myaka emito.
Oluvanyuma lwokubalukawo kwekirwadde kya ssenyiga omukambwe, abaana bangi abeyongedde okukozesa emitimbagano, wabula omujidde okusomozebwa
Bangi balaimbiddwa okubatwala mu bikolwa ebyokubakukusa, nokubakabawa.
Kamisono avunayizbwa ku baana nabavubuka mu minisitule yekikula kyabantu Mondo Kyateka, agambye nti akabi akagoberera ssenyiga omukambwe kangi mu baana ku mitimbagano nobutabanguko mu maka.
Asabye abazadde okufaayo okuwuliriza abaana, mu kusomozebwa kwebayita.
Mungeri yeemu, gavumenti esabiddwa okuvaayo nomukono ogwekyuma ku basajja abakkidde abaana abawala okubatikka embuto mu kiseera kyomuggalo.
Ebibalo biraga nti abaana obukadde 15 bebava mu masomero, okubatangiza ssenyiga omukambwe.
Wabula bangi bafunidde ebizbu ewaka, naddala abawala bafunye embuto.
Akulira emirimu ku kitongole kya Community development initiative organization nga ye Evelyn Zalwango okuleka abasajja abafunyisizza abaana embuto okuyinayina, ssi kirungi.
Agamabye nti abaana abwala akakadde kalamba, bebolekedde okufiirwa emisomo gyabwe, wabula abasajja agambye nti nabo betaaga okuvunaanwa mu mateeka