Amawulire

Makerere enonyereza ku misango 2 egyobukaba ku baana

Makerere enonyereza ku misango 2 egyobukaba ku baana

Ivan Ssenabulya

October 14th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Abakulu ku ttendekero lye Makerere baliko emisango 2 gyebanonyerezaako, egyokukabawaza abayizi nga gyalopebwa ngettendekero terinaggalwawo omwaka oguwedde.

Abanonyereza, omwaka oguwedde bazuula nti ebikolwa ebyobukaba ebitusibwa ku baana 91% emisango tejiropebwa.

Grace Bantebya, ngono Professor ku Makerere University Schools of Women and Gender Studies agambye nti baatandikawo enkola, okukozesa emitimbagano okuloopa obukaba.

Wabula agambye nti okuva enkola eno, lweyaletebwa baakafuna emisango 2 bakyegenda mu maaso nokunonyereza.

Wabula agambye nti basubira okufuna emisango emirala mu bungi, bwebanaaba baguddewo nga bazeemu okusomesa.

Munheri yeemu, Minisita webyenjigiriza nemizannyo Janet Museveni asabye amasomero gonna namatendekero okussa mu nkola ebiragiro, ebyalabikibwa okukuuma abaana okuva eri ebikolwa ebyobukaba.

Bino byabadde mu bubaka bwe, obwamusomeddwa omukubiriza wa palamenti Jacob Oulanyah ku ttendekero e Makerere, ngagambye nti wabaddewo okweyongera mu bikolwa byobukaba ku masomero.

Bino bibadde mu musomo, ogutudde ogukwata kungeri yokulwanyisaamu obukaba.

Agambye nti buli omu, asaanye okujjukira nti kimenya amateeka okwetaba mu bukaba ku masomero.