Amawulire
Univasite bagamba tebabebuzaako ku ‘Teachers’ Policy’
Bya Damalie Mukhaye
Zzi University ezisomesa abasomesa, bagamba nti tebebuzibwako ku ntekateeka ya gavumenti empya ekwata ku teeka lya teacher policy erigenda okutandika okutekebwa mu nkola omwaka gwebyensoma guno.
National Teacher’s policy yayisibwa mu mwaka gwa 2019 ngebimu ku byajjira mu tteeka lino, abasomesa bonna okuva ku primary batekeddwa okubeera n’obuyigirize ku mutendera gwa degree.
Zzi University ezibaddenga zisomesa degree emyaka 3 zitekeddwa okuteeka abayisi baazo mu kugezesebwa oba internship okumala omwaka mulamba wansi wa Uganda National Teacher’s Council ekitongole ekigenda okutondebwawo.
Amyuka ssnekulu wetendekero lye Kyambogo Prof Eli Katunguka agambye nti agambye nti bagenda kulinda okulungamizbwa okunaava mu gavumenti.
Yye amyuk Vice Chancellor we Makerere nga ye Prof Umar Kakumba agambye nti tebebuzibwaki ku kusomesa absomesa emyaka 4, wabula nti bwenatukirirwa baakuwabula.
Agambye nti okubongera obudde bwokusoma kigenda kugoba abamu omulimu baguveemu.
Mu ntekateeka eno, amatendekero okuli erya National Teacher’s colleges (NTCs) agabadde gasomesa absomesa ba secondary ku buyigirize bwa diploma (Grade V) ne Primary Teacher’s Colleges (PTCs) gagenda kutekebwa wansi wekitongole kya Uganda National Institute of Teacher Education (UNITE).
Omwogezi wa minisitule yebyenjigiriza nemizannyo Dr Denis Mugimba agambye nti abanaagwa okugezesebwa okwomwaka ogumu, tebajja kuweebwa layisinsi okukola.