Amawulire
Univasite zeetegekera kuggulawo nga 1 Novemba
Bya Damalie Mukhaye
Akakiiko akebyenjigiriza ebya waggulu, aka National Council for Higher Education (NCHE) bafulumizza ennambika yebitekeddwa okugobererwa eri zzi Uniasite namatendekero gebyemikono okuggulaow omwezi ogujja.
Kinajjukirwa nti omukulembeze wegwanga mu kwogera kwe, okwasembayo yalagira amatendekero gano, gaggulewo nga 1 Novemba.
Ssentebbe wakakiiko kano, Prof Mary Okwakol agambye nti essira lisaanye litekebwe ku bayizi abali mu mwaka gwabwe ogusooka baweebwe ebibiina ebimala okusoma.
Abayizi abatuula ebigezo bya S6 ebya 2020 bebatekeddwa okutandika Univasite mu mwaka ogusooka, wabula bingi ebikyebuzbwa obanga kino kinasoboka, kubanga waliwo abayizi abali mu mwaka ogusooka, abatanagenda mu mwaka ogwokubir.
Amatendekero galagiddwa okuggulawo mu mpalo ate balag entekateeka yaabwe gyebagoberera.
Kinajjukirwa nti gavumenti yalabula amatendekeri nti gatekeddwa okugoberera entekateeka z’okwetangira obulwadde zonna.
Mungeri yeemu ettendekero lye Kyambogo blaze entekateeka eri abayizi abali mu mwaka gwabwe ogusooka, okutandika okusoma.
Amyuka ssenkulu we Kyambogo Prof Eli Katunguka agambye nti bano, bagnda kumala olusoma olusooka nga beyanjula ku ttendekero okusoma, kubanga baali bakasomako akasera katono.
Prof Katunguka agambye nti bagenda kusososwaza abayizi abalina ebyokusoma ebyobuliwo oba practical, okugeza aba engineering, Vocational naba special needs department.
Abayizi abasigadde bajja kusomera waka, ku mitimbagano.
Oluvanyuma, abayizi abadde basomera awaka baakukola ebigezo byabwe mu Decemba.
Kyambogo yaakufundikira olusoma lwayo olwa 2020/21 mu April womwaka ogujja.