Amawulire
Ebigambo bya Museveni ku masomero byetaaga okuvumirirwa
Bya Ivan Ssenabulya
Abalwanirizi beddembe lyobuntu bakowoodde bannYuganda, okwegatta awamu okuvumirira ebigambo byomukulembeze wegwanga ku muggalo ogukyali ku masomero.
Amasomero gabadde ku muggalo kyenkana okumala emyaka 2, okuviira ddala mu March wa 2020, okuva ssenyiga omukambwe lweyakakasibwa mu gwanga.
Pulezidenti Museveni mu kwanukula abamuteeka ku nninga okuggula amasomero, abaddenga abambaliira nti kino kyakutaasa bulamu era omuwendo gwabawala abangi abafunye embuto gusobola okuguminkirizika.
Bweyabadde ayogerera mu musomo ogubadde gukwata ku ssenyiga omukambwe namwulire, akulira ekitongole kya Centre for Constitutional Governance nga ye Sarah Bireete agambye nti ebigambo byomukulembeze wgewanga bityoboola eddembe lyabaana era biseesa mu bikolwa byokukabawaza abaana.
Alipoota ya poliisi ekwata ku bumenyi bwamateeka eyomwaka gwa 2020 yalaga nti emisango gokusobya ku baana omutwalo 1 mu 4,134 gyegyafunika nga waaliwo okweyongera kwa 3.8% okuva ku misango omutwalo 1 mu 3,613 egyafunika mu 2019.