Amawulire

Baabano abafulumidde ku lukalala lwabatasasula musolo

Baabano abafulumidde ku lukalala lwabatasasula musolo

Ivan Ssenabulya

October 28th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Minisitule yebyensimbi, eriko olukalala lwabantu nebitongole 700, lwefulumizza abatayagala kusasaula musolo, okuli nababaka ba palamenti.

Olukalala luno lwafulumiziddwa minisita omubeezi, avunayizibwa ku kutegekera egwanga Amos Lugoloobi bweyabadde yeyanjudde eri akakiiko ka palamenti akembalirira.

Agambye nti abantu bano, gavumenti ebabanja omusolo gwabuwumbi 137 nekitundu, wezatukidde 30 Sebutemba.

Lugoloobi agambye nti ababanjibwa kuliko pioneer easy bus babanjibwa omusolo gwa buwumbi 5 nobukadde 700, Uganda telecom obukadde 72, Uganda blood transmission services obukadde 486, Uganda Muslim supreme council obukadde 22 nemitwalo 20 nabalala.

Abantu ssekinoomu abagundiivu ababanjibwa omusolo kuliko Joseph Mayanja amanyiddwa nga Chameleon abanjibwa obukadde 28 nemitwalo 70, omubaka omukyala owa disitulikiti ye Lwengo Cissy Namujju abanjibwa obukadde 51, Hajji Kyeyune Haruna Kasolo abanjibwa 94 nemitwalo 80, omubaka omukyala owe Nakaseke Sarah Najjuma abanjibwa obukadde 7 nemitwalo 10, omulamuzi Steven Kavuma abanjibwa obukadde 4 nemitwalo 40, omubaka wa EALA James Kakooza abanjibwa emitwalo 90 mu 5,000 nabalala.

Minisita agambye nti abantu nga bano, abebalama okusasula omusolo bebavirirko ekitongole ekiwooza obutatuuka ku kirubirirwa kyakyo.