Amawulire
Abalunzi bebyenyanja bawakanyizza omusolo
Bya Prosy Kisakye
Abalunzi bebyenyanja, wansi wekibiina Uganda commercial Fish Farmers Association basabye akakiiko ka palamenti akebyobulimi nobuvubi, obutakiriza akawayiro akawa obuyinza zzi gavumenti ezebitundu okuwooza abalunzi bebyenyanja, abakozesa ebidiba.
Akakiiko kano kagenda mu maaso nokwetegereza ebbago erya Aquaculture Bill 2021 nokufuna endowooza, zabantu abakwatibwako ensonga.
Ssentebbe wabalunzi bebyenyanja bino Robert Osinde bweyabadde akulembeddemu banne okweyanjula eri akakiiko akakubirizibwa omubaka omukyala owa disitulikiti ye Abim Janet Okoro-Moe, agambye nti kinaaba kikyamu era kubanyigiriza.
Agambye nti abalunzi bajja kwetagisa okusasula layisinsi, balyoka batandike emirimu gyokulunda.
Agambye nti wetwogerera nga waliwo abalunzi bebyebyenyanja mu bidiba, bebatandika edda okusoloola e Mukono nemu disitulikiti ye Buikwe.
Bano era basabye nti nebibonerezo ebyajidde mu tteeka lino, bikambwe nnyo byetaaga okukakakanyako.