Amawulire
Etteeka ku buseegu livumiriddwa
Okuyisa ebbago erikugira obusegu mu ggwanga kujjeemu abantu ab’enjawulo omwasi.
Ebbaga lino lyayisiddwa palamenti olunaku olw’eggulo nga lirimu okuwera busikaati obwa mini saako n’okutangaaza ku musango omuntu gwaba azizza bwaba yenyigidde mu kintu ekisasanya buseegu era amateeka gaba galamula gatya ku nsonga eno.
Wabula ye eyali minister w’empisa nobuntubulamu Miria Matembe yemulugunya nti eteeka lino ssi lyabwenkanya eri abakyala.
Ate ye omukungu okuva mu kibiina ekirwanirira enkulakulana mu bakyala Regina Bafaki agamba okuyisa eteeka ku buseegu ssi kyekisinga okuluma banayuganda era ebibaluma ebilala bingi nga byebyandisoose okukolebwako.
Abamu ku babaka bagamba nti ebbago lino lyagaziyizza nyo obuseegu nga era lyayingiridde n’eneyisa yabanayuganda eyokubeera n’abantu abeneyisa ezenjawulo awatali kusowagana.
Wabula ye minister w’empisa n’obuntubulamu Fr. Simon Lokodo azze awagira ebbago lino nga bwerigendereddwamu okuzza empisa mu bantu .