Amawulire
Ettaka lya gavumenti yiika 57 lyatundibwa obuwumbi 69.5 ku bbanja
Bya Prosy Kisakye
Akakiiko ka palamenti aka COSASE kazudde nti wlaiwo ettaka yiika 57, eryali eryekitongole kyentambula yegaali zomukka ekya Uganda Railways Corporation e Nsambya lyebawa musiga nsimbi wabula ku bbanja.
Bweyabadde alabiseeko mu kakiiko kano, akakubirizibwa omubaka wa Nakawa West Joel Ssenyonyi, akulira ekitongole Stanley Ssendegeya yagambye nti ettaka lye Nsambya lyaweebwa musiga nsimbi omu, nga bamuliyiririra olwettaka lyebamujjako eryali limuwereddwa mu nsobi mu Naguru-Nakawa Estate.
Ettaka lino lyatundibwa ku buwumbi 69 n’ekitundu nga buli yiika, bajibalirira ku kawumbi 1 nobukadde 200 wabula tewali ssente zonna zeyasasaula, ku kisubizo nti gavumenti yeyalina okumusasaulira.
Kati abekitongole kyentambula yegaali zomukka begaanye okwetaba mu buguzi buno, bagambye nti akakiiko kebyettaka mu gwanga aka Uganda Land Commission deal bebagiri mu mitambo.
Kati akakiiko kayise aba Uganda Land Commission naba Privatization Unit abavunayizibwa ku kwetundako ebintu bya gavumenti, okweyanjula eri akakiiko.