Amawulire
Gavumenti tesaanye kuteesa naba ADF
Bya Ivan Ssenabulya
Omukugu mu byokwerinda atenga munonyereza agamba nti okuteseganya nebajambula aba Allied Democratic Forces oba (ADF) tekikola nnyo makulu.
Omubaka wa munisipaali ye Bugiri, Asuman Basalirwa, wiiki ewedde yaleeta ekiteeso kino eri palamenti ngamba nti kino kisaanye kikolwbwe, kubanga omulabe akuba Uganda amanyikiddwa naye ebigendererwa bye tebinamanyika.
Kino kyawagirwa ababaka abamu, nebagamba nti kisoboka nga gavumenti bwezze eteesa nababaka abalala.
Gavumenti ezze erumiriza nti ADF beali emabega wobulumbaganyi bwa bbomu ezizze zikubwa mu Kampala, waddenga aba Islamic State bebavaayo okwewaana.
Kati Fred Egesa, agambye nti ssi kirungi okuteesa naba ADF abatanavaayo okulaga ebigendererwa byabwe, mu bulmabulukufu, kubanga ssi Uganda yokka gyebakuba naye bakuba namwanga amalala.
Awabudde nti ekiaanye okukolebwa ssi kutta abakwatibwa mu bikolwa bino, naye kubanguyiza obulamu, okusobola okusikiriza abakyabirimu okubivaamu.
Mungeri yeemu, gavumenti ewabuddwa kungeri yokuywezaamu ebyokwerinda mu kibuga, wakati mu kuyta olwebikolwa byobutujju.
Omubaka wa gavumenti e Kampala Hudu Husein, wiiki ewedde yalagidde abatembeeyi bona okuva ku mbalaza, naye bagende mu butale obwateebwawo.
Egesa, agambye nti ssi kirungi okusindikiriza abantu bano, naye gavumenti esaanye okubatekamu obwa mbega bakolagana nayo okujiwa amwulire agobukessi.