Amawulire

Ebinasomesebwa ng’amasomero gaguddewo biri mu lusuubo

Ebinasomesebwa ng’amasomero gaguddewo biri mu lusuubo

Ivan Ssenabulya

November 29th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Emyezi ebula 2, amasomero okuggulawo, wabula ekitongole ekivunanyizbwa ku bisomesebwa mu gwanga ekya National Curriculum Development Center (NCDC) batubidde ne nnambika yebsisomesebwa oba curriculum empya eyakolebwamu ennongosereza.

Bano bagamba nti minisitule yebyenjigiriza nemizannyo yalemereddwa okubawa obuwumbi 13 okumalirirza emirimu gyebabadde batandikako.

Egwanga bweryagwamu ssenyiga omukambwe, abakulu mu byenjigriza baakola enkyukakyuka mu bisomesebwa ku mutendera gwa Upper Primary, O ne A ‘Level okulaba nga bisoboka wakati mu kusomozebwa okubaddewo.

Mu Sebutemba womwaka guno aba National Curriculum Development Center bategeeza nga bwebaali bamlirirzza ekitundu ekeisooka, wabula baalina okubaga entekateeka yonna bajimaliririze.

Kati amawulire ag’omunda agava mu minisitule yebyenjigiriza nemizannyo galaga nti wadenga ebula mbale, okugulawo amasomero, curriculum tenaggwa.

Akylura ekitongole kya National Curriculum Development Center nga ye Dr Grace Baguma agambye nti mu mbeera eriwo baakulinda minisitule yebyenjigiriza okubabuliira ekiddako.

Bwatukiriddwa omwogezi wa minisitule yebyenjigiriza nemizannyo Dr Denis Mugimba agambye nti takakasa obanga ssente aba NCDC ssente zebasaba zabaweebwa oba nedda.

Mungeri yeemu, ababaka ba palamnti abatuula ku mukago gwa Parliamentary Forum on Social Protection Forum basabye gavumenti okubaga etteeka erya National Schools Health Policy, ngamasomero teganagulawo mu January omwaka ogujja.

Bwabadde ayogerako naffe, ssentebbe womukago guno omubaka Flavia Kabahenda agambye nti etteeka eryo lijja kuyamba nnyo okukuuma okulungamya abaana mu nsonga zebyobulamu, nga bali ku masomero.