Amawulire
UWONET bagala enambika yebinasomesebwa ku kwegadanga ekyusibwemu
Bya Juliet Nalwooga
Abalwanirizi b’eddembe lyabakyala wansi womukago ogubagatta ogwa Uganda Women Network (UWONET), bavuddeyo nebakubira gavumenti omulanga ekyuseemu mu nambika y’obubaka obugenderedwamu okuyigiriza abaana abato ebikwatagana ku byokwegatta, kyebatuua sex education, olwo enteekateeka eno esobole okwetannirwa mu masomero gonna.
Bino webijidde ngegwanga lyetekateeka okuggulawo ku ntandikwa yomwaka ogujja, nga namasomero mwogatwalidde.
Gyebuvuddeko gavumenti yalangirira eri abakola omulimu gwebyenjiriza ne banakyeewa bekikwatako nga bwerina ekola eyokusomesa abaana abato ebikwatagana nebyokwegatta gyeyakakasa nti yenekozesebwa mu masomero gonna.
Eno yalongosebwamu okuva ku eyali esoose okulambikibwa gyebagamba nti yalimu ebirumira bingi naddala kungeri y’okuyigirizaamu abaana ebikwatagana n’omukwano nga tebatyobodde nneyisa eyobuwangwa.
Bwabade ayogerera mu musomo ogwategekedwa aba International legislative frameworks kungeri yokussa mu nkola entekateeka ezekikula kyabantu empya mu gwanga, Suzan Acheng nakyewa okuva mu Uganda Women Network agambye nti obuvunanyizibwa obwokuyisa ebbaggo ku byobulamu buli eri palamenti olwo abakyaala nabaana abasiinga okulyetaaga basobole okuganyulwamu.
Bino byonna bijjide mu kiseera nga omuwendo gwabaana abawala abafuna embuto nga tebanetuuka gulinye nyo naddala okuva amasomero lwegagalwa.