Amawulire
Odinga akomyewo okuvuganya omulundi ogw’okutaano
Bya Ivan Ssenabulya
Abantu bikumi na bikumi, abawagizi okuli ne banabyabufuzi beyiye m kisaawe kye Kasarani ku mulirwano mu gwanga lya Kenya, ngeno akulembera abavuganya gavumenti wansi wa Orange Democratic Movement (ODM) Raila Odinga agenda kwogerera mu lukungaana lwe, olukyasinze okubeera olunene.
Odinga olwaleero asuirw aokulangira mu butongole nga bwagenda okuvuganya ku bukulembeze bwegwanga mu kulonda okubindabinda okwa 2022.
Ku mulundi guno, agenda kuzimbira ku buwagizi okuva ewabadde omukulembeze wegwanga lino Uhuru Kenyatta, yye atagenda kudda.
Odinga agenda kumegana nabadde omumyuka womukulembeze wegwanga William Ruto, ngono tebakyalinnya mu kimu ne pulezidenti Uhuru Kenyata.
Bannabyabufuzi okuli nababaka ba palamenti, abakulembeze bediini, abasubuzi nabalala abawagira Odinga, bebetaby mu lukungaana luno.
Kenya lye gwanga erisinga, era erisajakudde mu byenfuna mu East Africa, baakulonda nga 9 August omwaka ogujja 2022.