Amawulire
Obunkenke ng’eKayunga balonda ssentebbe olwaleero
Bya Fred Muzaale
Ebyokwerinda binywezeddwa mu disitulikiti ye Kayunga atenga n’obunkenke bweyongedde, ngabaayo bagenda okulonda ssentebbe wa disitulikiti omugya olwaleero.
Okusinziira ku kakiiko kebyokulonda, Kayunga erina abalonzi emitwalo 19 nebifo ebironderwamu 338.
Ekif kya ssentebbe wa disitulikiti kyasigala nga kikalu, oluvanyuma lwokufa kweyali Ssentebbe Ffeffekka Sserubogo, eyafa mungeri ekyaliko akabuuza.
Ono omulambo gwe gwasangibwa ku muti nga gulengejja, emmanju wennyumba ye.
Olunnaku lweggulo amagye mu bungi nabasirikale ba poliisi bayiriddwa ku kitebbe kya disitulikiti e Ntenjeru, wano webasinzidde okubasindika mu bifo ebyenjawulo.
Dennis Namuwoza, akolanga akulira ebikwekweto mu poliisi agambye nti bongedde ku muwendo gwabakuuma ddembe, naddala mu bifo byebamanyi ebyomutawaana okutangira obumenyi bwamateeka bwonna.
Omuddumizi wa poliisi e Kayunga Felix Mukizi alabudde abantu bonna abatekateeka okutabangula okulonda nti bakyewale, kubanga bajja kubanukula namaanyi agetagisa.
Abantu 6 bebavuganya ku kifo kya ssentebbe wa disitulikiti ye Kayunga okuli owa NUP Harriet Nakwedde, owa NRM Andrew Muwonge, owa DP Anthony Waddimba, abalala kuliko Jamir Kamoga, Magid Nyanzi ne Boniface Bandikubi nga bano tebalina bibiina mwebajidde.