Amawulire
Minisitule eragidde abasomesa bakomewo ngebula wiiki 2
Bya Damalie Mukhaye
Minisitule yebyenjigiriza nemizannyo eragidde abakulu bamasomero muga gavumenti nagobwananyini, okuyita absomesa bakomewo ku masomero mu wiiki 2, ngokugulawo amasomero tekunatuuka.
Minisita webyenjigiriza nemizannyo Janet Museveni, olunnaku lweggulo yafulumizza calendar yebyenjigiriza nentekateeka eyokuggulawo amasomero omwaka ogujja.
Amasomero gajja kugulwawo nga 10 January 2022, ebiralala okuva nga 1 February 2022, buli disitulikiti okuyita muba CAO batekeddwa okulaga minisitule alipoota ku ntambula yemirimu mu masomero.
Ate Uganda National Teachers Union ekibiina ekigatta abasomesa mu gwanga basabye minisitule yebyenjigiriza nemizannyo okuddamu okwetegereza ekiragiro, ekyobutasasaula basomesa abatali bageme ssenyiga omukambwe.
Minisita webyenjigiriza Janet Museveni yalabudde nti abasomedsa abatali bageme, bagenda kubajja ku lukalala okusasulirwa.
Bwabadde ayogerako naffe, Ssabawandiisi wa UNATU nga ye Filbert Baguma agambye nti banaaba bakikutte bubi okutandika nakyo ngamasomero gakaggulawo.
Agambye nti abasomesa bangi naddala mu bitundu byomubyao, babadde tebanafuna mukisa kugemebwa waddenga bagala.
Kino agambye nti kivudde ku ddagala eritanabatukako, nga betaaga okuwaayo obudde nomukisa.
Mungeri yeemu amasomero gasabye abazadde wakiri okuzza abaana ku masomero nekitundu ku bisale, ngamasomero gaguddewo.
Twogeddeko nabakulu bamasomero abenjawulo nebakola okusaba kuno.
Mu mbeera eno bagala abazadde baleete ku ssente, zebnatandikirako.