Amawulire

Abalunzi baanirizza ekya gavumenti okukaliga Kenya

Abalunzi baanirizza ekya gavumenti okukaliga Kenya

Ivan Ssenabulya

December 16th, 2021

No comments

Bya Ritaha Kemigisa

Abalunzi bekoko wansi wekibiina mwebegattira Uganda Poultry Farmers Network baanirizza okusawo kwa gavumenti, okukaliga balirwana aba Kenya, olwokugaana ebyamaguzi ebiva e Uganda.

Minisita owensonga zomukago gwa East African Community, ga ye mumyuka wa Ssabaminisita wegwanga Asooka Rebecca Kadaga yagambye nti basazeewo mu lukiiko lwaba minisita babeeko engeri gyebanukula ku joogo lino, nga kyadirira nate okugaana amagi agava e Uganda okuyingira akatale kaabwe.

Kati Uganda egamba nti yandiwalirizibwa nayo okuwera ebimu ku byamaguzi ebiva e Kenya, obutayingira katale ka wano.

Omusumba Solomon Male, nga ye Ssabawandiisi wa Uganda Poultry Farmers Network, agambye nti Uganda yalwawo dda ku nsonga eno.

Kenya lyerimu ku mawanga mu kitundu kyobuvanjuba bwa Africa, ababadde basinga okugula ebyamaguzi bya Uganda ku 48.6% negobererwa South Sudan ku 36 % okusinziira ku minisitule yebyensimbi.

Mungeri yeemu abakugu, balabudde nti endoliito mu byobusubuzi wakati wa Uganda ne Kenya, zolekedde okunafuya omukago gwa East African community.

Omukugu mu byobusubuzi Prof Gerald Karyeija, era omusomesa ku Uganda Management, alabudde nti newankubadde ensonga zezisgamiziddwa ku mutindo naye Kenya kyekola ssi kyabwenkanya.

Asabye abakulembeze okuvaayo ensonga okuzigonjoola.