Amawulire

Abatali bageme b’olekedde okubawera mu bifo eby’olukale

Abatali bageme b’olekedde okubawera mu bifo eby’olukale

Ivan Ssenabulya

December 23rd, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Minisitule yebyobulamu etegezezza ng’olukiiko lwaba minisita bwerukyagenda mu maaso, okuteesa ku kyokukoma ku bantu abatali bageme okugenda mu bifo ebyolukale.

Kuno kuliko amasinzizo, obutale, amabbaala nezi w’ofiisi za gavumenti, nga bagala kikolebwe ngebyenfuna biguddewo omwaka ogujja.

Minisitule yebyobulamu yawabudde nti abakozi ba gavumenti nabakulembeze, okugeza ababaka ba palamenti, ba minisita nabalala bebaba basooka okugemebwa.

Abalala bebalubirirdde kuliko, abakulira emirimu mu byentambula eyolukale naba woteeri, ebiriiro byemmere, amabbaala nabalala.

Bino byonna biri mu biwandiiko omusasai waffe byeyalabyeko olunnaku lweggulo.

Anifa Kawooya, minisita owa guno na guli mu minisitule yebyobulamu agambye nti gavumenti eyagala okubaako engeri gyekugira abatali bageme okwetaba mu balala.

Amawanga agakoze kino kuliko Ghana, Egypt, America, Austria, Germany ne Indonesia.

Ebibalo okuva mu minisitule yebyobulamu, biraga nti okuva okugema kwatandika mu March womwaka guno, abantu obukadde 8 n’emitwalo 30 bebakagemebwa, akakadde 1 nemitwalo 40 bebakamalayo doozi ku bukadde 22 awamu bwebalubirira.