Amawulire
Bubuno: Obubaka bwa Ssabasajja obwa Ssekukulu
Bya Ivan Ssenabulya
Empologoma ya Buganda Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11, akunze abantu be okujjumbira okwegema ekirwadde kya ssenyiga omukambwe, nokukyetagira.
Empologoma egamba nti abantu bangi abafudde atenga nobulabe bukyali bwamaanyi ku byenfuna, ebyengigiriza, ebyobulamu, ku mbeera zabantu obwaletebwa COVID-19.
Bino, omutanda abitadde mu bubaka bwe obwa ssekukulu nomwaka omugya eri Obuganda, ngasabye gavumenti okuvaayo ewagire amasomero namatendekero agobwananyini abakosebbwa ennyo ssenyiga omukambwe.
Agambye nti amasomero gakosebwa nga getaaga obuyambi, okusobola okutukiriza obulungi omulimu gwokusomesa abaana.
Wabula mu mbeera eno, agambye nti kikulu nnyo abantu okusigala nga bebaza Katonda olwobulamu nokukakana kwekirwadde kya ssneyiga omukambwe.
Mu birala, Ssabasajja agambye nti kikulu nyo okujaguza Ssekukulu nga twefumintiriza ku mubala gwgwanga lyaffe, ‘Kulwa Katonda nensi yaffe’ okusobola okwejjako ebikolwa ebyobukumpanya omuli okunyigiriza, okutwala ebintu byabantu ku mpaka nebirala ebivoola Katonda.