Amawulire
Abaategese ebivvulu e Mutukula bakangavvulwe
Bya Ivan Ssenabulya
Abategesi bebivvulu wansi wa Uganda Music Promoters and Venue Owners Network (UMPONET) basabye gavumenti nti waberewo, obwenkanya mu kutekanga mu nkola ebiragiro byayo ku bivvulu.
Bano bagamba nti waliwo kyekubiira ngabamu batandise nokugenda okutegeka ebivvulu e Mutukula ku nsalo ya Uganda ne Tanzania ebivvulu ebinene ku ssekukulu.
Kino kyadirira abategesi bebivvulu okwegayirira gavumenti ebakirize okukola ku ssekukulu naye gavumenti negaana, okubalemza mu muggalo kati emyaka 2.
Omukwanaganya wemirimu mu kibiina kya Uganda Music Promoters and Venue Owners Network nga ye Tony Ssempijja agambye nti kino kigenda kutatana omutindo gwekisaawe kyokuyimba era kyabadde kiteeka mu kabi abantu okulwala ssenyiga omukambwe.
Bano balabudde okuwandikira gavumenti nga babanja nti ebonereze abategesi bebivvulu ababadde e Mutukula.