Amawulire

Kakwenza bamuzizaayo ku alimanda

Kakwenza bamuzizaayo ku alimanda

Ivan Ssenabulya

January 11th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah

Omuwandiisi Kakwenza Rukirabashaija, aleteddwa mu kooti ya Buganda Road navunanibwa emisango gyokunyiiza abakulu mu gavumenti oba Offensive Communication.

Ono bamusomede emisaango nagyegaana, nebamuzaayo ku alimanda okutukira ddala nga 21 January 2022 mu kkomera lye Kitalya.

Ono abadde mu maaso gomulamuzi Dr. Douglas Singiza ngamusomedde emisango 2 okuli nogw’okukozesa obubi ebyuma bi kalimagezi oba Computer-Misuse.

Omuwaabi wa gavumenti Joan Keko, agambye nti emisango yagizza wakati wanga 24 ne 28 Decemba 2021.

Omulamuzi wa kooti enkulu mu Kampala Musa Ssekaana, olunnaku lweggulo yabadde ayisizza ekiragiro eri abakuuma ddembe okuleeta Kakwenza nga mufu oba mulamu.

Omulamuzi yabadde awadde gavumenti obutasukka olwaleero, ono okumuleeta.

Avunanibwa okuvuma omudumizi wamagye gegwanga agoku ttaka Gen Muhoozi Kainerugaba era mutabani womukulembeze wegwanga, nga kigambibwa yasinziira ku mukutu gwa Twitter.

Ono yakwatibwa okuva e Kisasi mu Kampala nga 28 Decemba ku nkomerero ya 2021.