Amawulire
Ssabasumba we Kampala agenda kutuzibwa olwaleero
Bya Ritah Kemigisa
Ssabasumba wessaza ekkulu erye Kampala omulonde, Bishop Paul Ssemogerere agenda kutuzibwa olunnaku lwaleero.
Zaali ennaku zomwezi 9 Decemba ku nkomerereo yomwaka oguwedde 2021, Paapa Francis yalonda Omusmba we Kasana Luwero okudda mu kifo kino ekyalimu omugenzi Dr Cyprian K Lwanga.
Fr Pius Male, nga ye Chancellor wessaza lye Kampala agambye nti emikolo gigenda kutandika ku ssaawa 4 ez’okumakya nekitambiro kya mmisa.
Ku budde buno, Bishop Ssemogerere ab’essaza lya Kasana Luwero bamukutte mu butongole nebamuwaayo eri abessaza lya Kampala ku Lubigi ku mugga Lumasi e Matugga.
Omusasi waffe Steven Mbidde, yetabye mu lugendo luno aliko byeyatukunganyirizza bwebabadde basimbula.
Bino byabaddewo nga basimbula, era balindiriddwa ku lutikko e Rubaga.
Mungeri yeemu omuddumizi wa poliisi yebidduka mu Kampala nemirirwano Rogers Nsereko afulumizza okulungamya okutekeddwa okugobererwa mu byentambula ku mikolo gino.
Agambye nti wagenda kuberawo okutataganyizbwa mu byentambula ku nguudo ezetolodde Lutikko e Rubaga okujjako oluguudo lwa Wakaliga.
Abava e Nateete ne Nalukolongo bajja kukozesa Ndeeba nga bewala Lubaga ne Kabusu.
Abagenda ku ddwaliro lye Rubaga bawabuddwa bakozese Maternity Gate.
Ekifo kya Ssabasumba wessaza ekkulu erye Kampala, kyasigala nga kikalu, oluvanyuma lwokufa kwa Ssabasumba Kizito Lwanga nga 3 April omwaka oguwedde 2021.