Amawulire
Museveni asubizza okuyamba abaafuna embuto mu muggalo
Bya Benjamin Jumbe
Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni ategezezza nga bwebagenda okuteesa mu lukiiko lwaba minisita nabalala abakwatbwako ku mbeera yabaana ababuuka nembuto, mu kiseera amasomero kyegamaze nga maggale.
Wabaddewo okwemulugunya kungi oluvanyuma lwa alipoota ezizze ziraga nti abaana bangi abeyononesa, okugenda mu bikolwa byobukaba nabamu okubasobyako, mu muggalo gwa ssenyiga omukambwe.
Pulezidenti Museveni asinzidde ku mikolo egyolunnaku lwa NRM egyomulundi ogwa 36 nagamba nti tajja kukirizganya enyokunenya abaana, kubanga agambye nti waliwo omukisa okugenda mu maaso nokusoma kwabwe.
Agambye nti agenda kwogerezeganya ne banadiini, era ku nsonga yeemu, okulaba engeri yokuyambamu abaana bano.
Wano yebazizza ne banna-Uganda olwokugondera ebiragiro ebizze bibaweebwa okwetangira ssenyiga omukambwe.