Amawulire
Gavumenti esubidde bingi mu ntekateeka ya LEGS
Bya Ivan Ssenabulya
Gavumenti egamba nti esubidde mungi mu polojekiti ya Local Economic Growth Support (LEGS) nti egenda kuvaamu obuwanguzi.
Entekateeka eno eri wansi wa minisitule yekikula kyabantu, ngerubiridde abantu akakadde kalamba, okuyita mu kusseesa entekateeka ebaddewo eyenkulakulana gyebatuuma National Development Plan III (NDP III) nokugoba ebirubirirwa byensi ebya Sustainable Development Goals (SDGs).
Raphael Magezi, minisita owa gavumenti ezebitundu agambye nti abalimi 6,000 bebakaweebwa ensigo obukadde 4 nemitwalo 30 ezemwanyi, amajaani ne vanilla, ebijimusa, ensigo zebibala nebivava atenga ebikozesebwa mu kuloma nokulunda 1,821 nabyo bibawereddwa.
Alina essuubi nti emyaka 5 weginagwerako egya polojekiti eno, nga disitulikiti zebyalo 17 zongeddde okuyimusa emirimu gyokulunda 25%, ngamazzi amayonjo gatuuse mu bantu nokweyongera kwa 75%.
Awamu disitulikiti ezigenda okuganyulwa kuliko Aleptong, Katakwi, Kumi, Kibuku, Gomba, Nakaseke, Kyenjojo, Bunyagambo, Kabarole, Ntoroko, Buyende, Buikwe, Tororo, Adjumani, Nwoya, Rukungiri ne Luwero.