Amawulire
UN egenda kutunula mu Uganda kuby’eddembe ly’obuntu
Bya Ivan Ssenabulya
Olutuula olwakakiiko akaddembe ly’obuntu aka Human Rights Council Universal Periodic Review (UPR), olw’omulundi ogwa 48 lukyagenda mu maaso mu kibuga Geneva e Switzerland.
Olutuula luno lwatandise nga 24 January era lusubirwa okuggalwawo nga 3 February 2022, ngamawanga 12 awamu gegagenda okutunulwamu kungeri gyebakwatamu ensonga zeddembe lyobuntu.
Kati olwaleero Uganda erindiriddwa bebagenda okutunulamu, mu lutuula olugendaokulagibwa butereevu ku mitimbagano okuva ku ssaawa 5 ezokumakya okutukira ddala ku ssaawa 8 nekitundu eza Uganda.
Alipoota eziva mu kakiiko akalera eddembe lyobuntu aka Uganda Human Rights Commission wabula zaasonze mu bitongole ebikuuma ddembe nti ebakulembedde mu kulinyirira eddembe lyobuntu.
Byebesgamako kuliko, alipoota za gavumenti, okuva mu bitongole nakyewa ebirera eddembe lyobuntu nebirala.
Amawanga amalala gebagenda okutunulamu mu lutuula luno kuliko; Togo, Syria, Iceland, Venezuela, Zimbabwe, Lithuania, Moldova, South Sudan, Haiti ne Sudan.