Amawulire
Prof Nawangwe awumuzza abayizi 2 lwakujerega munaabwe
Bya Damalie Mukhaye
Amyuka ssenkulu ku ttendekero lye Makerere University Prof Barnabas Nawangwe aliko abayizi 2 bawumuzza ku bayizi 3 abagambibwa nti babadde batulugunya omuyizi omuppya, mu mwaka ogusooka.
Kigambibwa abayizi bano babadde bakaka omuyizi omuppya,a yimbe ennyimba zobuseegu.
Kuno kuliko Joseph Muzinda abadde asoma Bachelor of Development studies ne Isaac Byaruhanga owa Bachelor of Medicine and Surgery.
Mu bbaluwa Prof Nawangwe gyeyawandiise ebagoba, bano era bavunaniddwa omusango gwokownoona ebintu bya Univasite, ngeisango baagidizza mu Lumumba Hall.
Wabula agambye nti bajja kuyitibwa mu kakiiko akakwasisa empisa, benonyoleko.
Mungeri yeemu, aliko ekibaluwa kyayisizza ngalabula abayizi 3 okuli Joel Muleyi owa (Bachelor of Science in nursing), Joel Seguya (Bachelor of Science, food science and technology) ne Abdallahuman Kahigiriza.
Mungeri yeemu Prof Nwangwe, alabudde abayizi nti bakomye okugoberera amawulire agabawabya, okuva mu bakulembeze babayizi.
Bino abyesigamizza ku byalagiddwa abakulembeze babayizi, ku ntekateeka yokuggulawo okuddamu okusoma.
Wabula anyonyodde nti abayizi mu mwaka ogusooka abajja wiiki ewedde, baakugenda mu maaso nga basomera ku ttendekero okumala wiiki 5.
Abayizi abasigadde bajja kusigala nga basomera ku mitimbagano, mu maka gaabwe, oluvanyuma wajja kuberawo okukyusa.