Amawulire
Fr Lokodo agenda kuzikibwa olwaleero
Bya Ritah Kemigisa
Eyali minisita omukwasisa w’empisa nobuntu bulamu Rev Father Simon Lokodo agenda kuzikibwa olunnaku lwa leero.
Rev Father Lokodo weyafiridde, nga kamisona atuula ku kakiiko keddembe lyobuntu aka Uganda Human rights commission, yafiira mu kibuga Geneva e Switzerland, gyebaali bagenze okwetaba mu lukungaana olwokukuba tooki mu nkwata yeddembe lyobuntu eri Uganda oba Universal Periodic Review.
Omulambo ggenda kutikibwa okwolekera ekitundu kye Kapedo mu disitulikiti ye Karenga, azikibwe olwaleero lwennyini.
Mu kusabira omwoyo gwomugenzi ku kkereziya ya Christ the king mu Kampala, amyuka Sipiika wa palamenti Anita Among ngono yakiriddwa omubaka wa Bukooli central Solomon Silwanyi yagambye nti egwanga lifiriddwa omuntu omukozi, era omukulembeze abadde alwana okutekawo obwenkanya.
Ono yalangiridde amabugo ga bukadde 20 okuyambako mu kuziika, okuva eri palamenti.