Amawulire
Human Rights Watch Bagala Kakwenza emisango gimujibweko
Bya Ritah Kemigisa
Abalwanirizi beddembe ly’obuntu aba Human Rights Watch basabye gavumenti ya Uganda okunonyereza ku bikolwa ebityoboola eddembe lyobuntu ebikolebwa amagye ku bantu babulijjo.
Bino webijidde ngekikyasembyeyo ye muwandiisi webitabo, Kakwenza Rukirabashaija agambibwa nti baamutulugunya okumala ennaku 14.
Mu kiwandiiko kyebafulumizza, basabye bagumenti okusuula emisango gyonna egyaguddwa ku Kakwenza okunonyereza nokuvunaana ku bakuuma ddembe bonna abetaba mu kutulugunya.
Kakwenza wetwogerera nga yadduse egwanga okugenda mu buwanganguse, wakati mu misango egimuvunanibwa egyokuvuma n’okunyiiza mutabani womukulembeze wegwanga, Muhoozi Kainerugaba.
Oryem Nyeko, nga munoinyereza ku Huma Rights watch agambye nti mu kifo kyokunonyereza nokuvunaana omuntu olwebyawandikibwa ku twitter, amaanyi gasaanye gatekebwe ku kulwanyisa ebikolwa byokutulugunya abantu.
Gavumenti ezze egamba nti okutulugunya tebakuwagira era tekiri mu nkola zaayo.