Amawulire

URA egenda kuteeka amaanyi mu bukessi

URA egenda kuteeka amaanyi mu bukessi

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Ekitongole ekiwooza ky’omusolo, Uganda Revenue Authority (URA) kigamba nti kyongeddemu amaanyi okulwanyisa okukusa ebyamaguzi, okuyita mu kunyweza obukessi ku nsalo.

Geoffrey Balamaga, akulira emirimu gyebikwekweto mu URA agambye nti bagenda kukendeeza ku lyanyi era eribadde likozesebwa.

Ategezezza nga bwebaliko mmotoka kika kya luklulana namba UAN 010/L gyebakwata gyebuvuddeko nga kuliko carton za taaba 320 owekika kya Mijaj eyaganibwa mu gwanga.

Mmotoka eno baagikwatidde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu, okweyambisa obukessi.

Mmotoka endala kika kya saloon nnamba UBK 524 bagiboye ne textiles 202 ebibalirirwamu obukadde 50 e Busia.

Balamaga aabudde abasabaza ebyamaguzi okwewala okutambuza ebintu wabweru wamateeka.