Amawulire
CEC ya NRM nabavuganya bagenda kutuula
Bya Basasi Baffe
Olukiiko lw’ekibiina kya NRM olwa waggulu, Central Executive Committee lugenda kutuula olwaleero okusunsula ba memba bekibiina abavuddeyo nebalaga obwagazi okuvuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti.
Olunnaku lweggulo, akakiiko kebyokulonda munda mu kibiina kaasunsudde abantu 13 abegwanyiza okudda mu bigere by’omugenzi Jacob Oulanyah.
Olukiiko lwa CEC lugenda kutuula mu maka gobwa pulezidenti nga lukubirizibwa ssentebbe wekibiina mu gwanga Yoweri K Museveni.
Ssabawandiisi wa NRM Richard Twodwong agambye nti amannya aganaaba gasunsuddwa CEC bajjakugawereza mu kabondo k’ekibiina akagenda okutuula ku lunnaku Lwokuna, okwongera okubetegereza.
Abajidde mu NRM okuvuganya kuliko amyuka sipiika Anita Among, amyuka Ssabawolereza wa gavumenti Jackson Kafuuzi, minisita webyokwerinda Jacob Oboth Oboth, minisita webyobulamu Jane Ruth Aceng nabalala.
Abalala kuliko minisita webyemizannyo Hamson Obua, omubaka we Lwemiyaga Theodore Ssekikubo, omubaka omukyala owe Tororo Sarah Opendi, omubaka wa Dokolo South Felix Okot Ogong nabalala.
Ate akabondo kababaka ba palamenti ku ludda oluvuganya gavumenti kagenda kutuula olunnaku lwenkya okulonda, anabakwatira bendera mu kuvuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti ku lunnaku Lwokutaano.
Minisita wamwulire mu gavumenti eyekisikirize Joyce Bagala agambye nti basazeewo basimbewo omuntu omu okwetaba mu kuvuganya okwawamu.
Agambye nti ebinaaba bivudde mu lutuula lwakabondo kaabwe ku Lwokuna bijja kulangirirwa oluvanyuma.
Abamu ku batunuliddwa kuliko omubaka wa munisipaali ye Bugiri Asuman Basalirwa n’omubaka omukyala owa disitulikiti ye Kampala Shamim Malende.