Amawulire

Embaliria y’okuziika Oulanyaha yabuwubi 2 n’ekitundu

Embaliria y’okuziika Oulanyaha yabuwubi 2 n’ekitundu

Ivan Ssenabulya

March 29th, 2022

No comments

Bya Musasi Waffe

Gavumenti egenda kusasanya obuwumbi 2 n’ekitundu mu ntekateeka zokuziika abadde sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah mu bitiibwa.

Ono owemyaka 56 yabadde sipiika wa palamenti owomulundi ogwe 11, wabula Mukama yamujulula okuva mu bulamu bwensi mu gwanga lya America gyeyali yatwalibwa okujanajabibwa ku akawumbi 1 nobukadde 700.

Obuwumbi 2 nekitundu yembalirira eyabagiddwa akakiiko akategeka okuziika, akakubirizibwa minisita wensonga zobwa pulezidenti Milly Babalanda.

Wabula ku ssente zino tekuliiko bisale bya ddwaliro nentekateeka ezinakolebwa aba famile, okutambuza omulambo okuguzza okwaboobwe okuva mu America.

Kyategezeddwa nti omubiri gwomugenzi gujja kukomezebwawo ku lunnaku Lowkutaano wiiki eno, nga gusubirwa okutonnya ku kisaawe Entebbe mu nnyonyi ya Ethiopian Airlines.

Okusinziira ku kwekenneenya aba Daily Monitor kwebakoze ku mbalirira eno, ssente ezisinga zigenda kukozesebwa ku lunnaku lwokuziika mu disitulikiti ye Omoro.

Kitegezeddwa nti ababaka ba palamenti mu kabondo kaabwe akabava mu Acholi bagenda kuweebwa obukadde 312 nemitwalo 90, kulwentekateeka zino na ziri wabula ezitanayonyolwa.

A-Plus Services, bajja kusasaulwa obukadde 226, ebyokwerinda bijja kutwala obukadde 158 nekitundu, olunnaku lwokuziika werunzibira ngabasasanyizza akawumbi 1 nobukadde 100, amafuta baagabaliridde obuwumbi 124, akakaiiko kebyensimbi era akategeka okuziika kajja kutwala obukadde 248 nemitwalo 70.