Amawulire
UPDF esse abajaasi 20 mu nnaku 10
Bya Benjamin Jumbe
Amagye gegwanga aga UPDF galiko abalwanyi 20 bebasse mu nnaku 10 eziyise mu kitundu kye Karamoja.
Bano bakoleddwako ebikwekweto oluvanyuma lwabalwanyi abegwanga lya Turkana okutta abakungu 3 okuva minisitule yamasanyalaze nabajaasi bya 2 mu disitulikiti ye Moroto.
Omwogezi wamagye gegwanga Brig Gen Felix Kulayigye mu kiwandiiko kyafulumizza agambye nti abalwanyi 39 mungeri yeemu bakwatiddwa.
Agambye nti mu bbanga lino era basobodde okununula emmundu 4 namasasai 47.
Agambye nti bino bibaddewo okuva nga 19 okutukira ddala nga 29 March, 2022 nga banunudde nente enzibe eziwera 776.
Brig Kulayigye wabula agambye nti baafiriddwa abajaasi begye lyegwanga 4, abantu babulijjo 5 ngawamu ente 170 zezibbiddwa era mu bbanga lyerimu.
Kinajjukirwa nti ebikwekweto bya Usalama kwa Wote byatandika mu July wa 2021, nga basobodde okutta abalwanyi era ababbi bente awamu 309, banunudde emmundu 184 namasasai 2,352 nebirala bingi agamba ebitukiddwako.