Amawulire
Ababaka b’Acholi tebanaweebw ssente z’okuziika
Bya Ritah Kemigisa
Ababaka ba palamenti mu kabondo kabava mu kitundu kya Acholi balajanidde gavumenti olwokulwawo okubawa ssente, ezakanyizibwako okukola ku ntekateeka z’okuziika abadde sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah.
Akakiiko akategeka okuziika kasooka nekabaga embalirira ya buwumbi 2 nekitundu, nebazisala okudda ku kawumbi 1 nobukadde 800 naga nazo baazisaze okudda ku kawumbi 1 nobukadde 200.
Bwabadde ayogerako naffe, ssentebbe wakabondo kano, omubaka we Kilak North Anthony Akol agambye nti basobeddwa olwokulwawo okubawa ssente zino.
Agambye nti balina okutegeka abantu nokubaga obukiiko obunakola emirimu ku kyalo Lalogi webagenda okuziika.
Kino agambye nti kitandise okubanyigiriza kubanga abamu ku babaka kati bakozesa ssente zaabwe, ngabamu basonze obukadde 2 ezokusasula abazinyi aba Bwola abatandise edda omulimu.
Minisita webyamawulire Dr Chris Baryomunsi asabye ababaka bano okubeera abakakamu.
Ono yasmbazze namawulire agabadde galaga nti gavumenti yewoze okusobola okuziika omugenzi Oulanyah.