Amawulire
Abasuubuzi ba KACITA bagaanye ekiragiro kya URA ku motoka enkadde
Bya Prossy Kisakye,
Abasuubuzi wansi wekibiina kyabwe ki Kampala City Traders Association (KACITA) basabye ekitongole ekiwooza kyomusolo mu ggwanga ki Uganda Revenue Authority, okusazaamu ekiragiro kyebayisiza ku motoka enkadde eziyingira eggwanga.
Mu ssabiiti ewedde aba URA bafulumiza ekiwandiiko nga kiraga nti okutandika nomwezi ogwomusanvu, emotoka zonna enkadde ezakolebwa emyaka 9 emabega nokusingawo zirina okusasula omusolo ku myalo okuli Dar es salaam ne Mombasa nga tezinayingira ggwanga.
Wabula mu kwogerako ne bannamawulire ku yafeesi zabwe mu kampala, akolanga Ssentebe wa KACITA,Thaddeus Musoke, agambye nti bafunye okwemulugunya okuva eri abasuubuzi be motoka enkadde nga bagamba nti sibetegefu kugoberera kiragiro kino kuba kyakubanyigiriza nyo.
Bano bagamba nti tebalina nsimbi zakusasula musolo guno okwawukanako kunkola enkadde nga zikkirizibwa okuyingira eggwanga ne basasula omusolo oluvanyuma.
Musoke agambye nti abasuubuzi balina nokutya nti emotoka zabwe zakubbibwa ku myalo kuba URA olumala okugiwa omusolo eba tekyalina buvunayizibwa ku mmaali yabwe.
Bano mungeri yemu bagamba nti banabwe abasoba mu 3000 abali mu mulimo guno bolekedde okufiirwa emirimu singa URA teyekuba mu kifuba.